Latest News
0

Poliisi ekutte abatta omusuubuzi e Kyetume

Poliisi ya Kampala n’emiriraano ekutte abasajja bababiri abagambibwa okutta omusaabaze gwe baali bagezaako okubba omulambo gwe nebagusuula e Kyetume nga baagala ettemu lino lirabike nga akabenje. Abasrikale ba Poliisi nga beyambisa Kkamera enkettabikolwa betegerezza akatambi nebatandika okunoonya emotoka wamu n’abatemu abagirimu. Bano balabikira mu katambi nga basuula omulambo n’oluvannyuma nebasimbula nebagenda.Bano basangiddwa ku luguudo lw’e Masaka olukadde, bano bategeezezza Poliisi nti omusajja baali tebamumanyi era nga bamusanga ku siteegi ya takisi nga adda Jinja, bano bwebatuuka e Mukono nebakyama okudda ku luguudo lw’e Katosi nga baagala okumubba wabula nalwana. Bano bagamba bamusinza amaanyi nebamutuga omulambo gwe nebagusuula e Kyetume mu Mukono.Bano kuliko Bamwine Alex alias Kainerugaba Felix, ne Kalema Emmanuel, nga baali batambulira mu motoka ekika kya Mark 11, nnamba UAR 066B nga njeru. Eyattibwa ye yali Mutebi Ggugwa Ronald 33, nga yali musuubuzi omutuuze w’e Walusubi e Mukono n’e Ssenyi ku mwalo.

More Similar Posts

Menu