Poliisi e Mayuge etaasizza abayizi ababadde bawambiddwa essomero

Poliisi erumbye essomerolya Glory Nursery and Primary School, erisangibwa e Buwaya mu Disitulikiti y’e Mayuge netaasa abaana 13 abatuula ekibiina eky’omusanvu abawambibwa essomero olwokuba babangibwa.

Essomero lino lirina abayizi abava awaka n’abasula ku ssomero. Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East James Mubi agamba nti abayizi babadde babangibwa ensimbi ezisoba mu kakadde. Kigambibwa nti essomero lyagaanye abayizi okuli abawala 5 n’abalenzi 8 nga babadde bakuumirwa mu nnyumba eziriraanye essomero ezipangisibwa nga zikozesebwa nga ekisulo wamu n’ebintu byabwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Poliisi e Mukono ekutte omusomesa wa myaka 43