CEC YA NRM ESALAWO LEERO KU ANI AGENDA OKUKWATIRA EKIBIINA BENDERA KU KIFO KYA SIPIIKA

Olukiiko lwa CEC mu kibiina kya National Resistance Movement – NRM olwaleeero lugenda kutuula mu State House Entebe okukubaganya ebirowooza ku mateeka agagenda okugobererwa mu kulonda Sipiika wa Palamenti.
Olukiiko lwa CEC lusuubirwa okusalawo ku ani agenda okukwatira ekibiina bendera ku kifo kya Sipiika ku Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ne Jacob Oulanyah.
Okulonda kwakubaawo nga 24 omwezi guno mu kisaawe e Kololo oluvanyuma lw’okulayira kw’Ababaka.

KKOOTI ESALIDDE OMUSIRIKALE WA UPDF EKIBONEREZO KYAKUTTIBWA

Kkooti Enkulu mu Kampala esabiddwa okuwa omusirikale wa Uganda People’s Defence Forces – UPDF Capt Bumali Mangeni ekibonerezo ekyokuttibwa oluvannyuma lwokusingisibwa omusango gwokubba n’okutta munnansi wa Eritrea.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulembeddwamu Jonathan Muwaganya, agamba nti obujulizi bulaga nti bano bategeka olukwe lw’okuwamba Daniel Micheal Weldu okuva e Kololo mu Kampala nebamutwala ku Kyalo Amerikwit mu Kenya gyebamukubira amasasi ne bamutta n’omulambo gwe nebaguteekera omuliro ebimala okumuweesa ekibonerezo ekyokuttibwa wamu ne banne 2 okuli Munnamateeka Benon Duncan Lumu ne Andrew Kisitu.
Capt. Bumali nga musirikale wa Special Forces Command ne banne nekigendererwa ekyokutta Weduli bagula mafuta ga Petulooli okuva e Jinja nebavuga nga boolekera Kenya nebamukuba amasasi 3 mu kifuba nga bakozesa basitoola n’oluvannyuma omulambo gwe nebaguteekera omuliro nebabba ebintu bye mu October 2016 okuli; emotoka, akatabo ka cheque, essimu, essaawa wamu ne ddoola 18000.
Wano omulamuzi Flavia Anglin Ssenoga weyasinzidde okubawa ekibonerezo.

EYEWAANA OKUWAMBA ABAANA AKWATIDDWA OLUVANNYUMA LW’EMYAKA 12

Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa kukunoonyereza ku misango ekya CID mu Uganda Police Force Twiine Charles avuddeyo nategeeza Poliisi bweyakutte omusajja Yunus Kabul ku nsalo ya Elegu, nga ono yalabikira mu katambi ka BBC nga yewaana nga bwali nnakinku mukukusa abaana era nga akikoledde emyaka egiwerako era nga yakulira abakukusa abaana Eggwanga lyonna.
Ono era awulirwa mu katambi nga ategeeza nga bwawamba abaana nabaguza abasamize ku lukalu lwa Africa nannyonyola n’engeri gyabafunamu.
Kabul yabinnyonyola Munnamawulire Chris Rogers mu 2011.

Oluguudo Kabakanjagala lutongozeddwa nga ekifo ky’obulambuzi mu Bwakabaka.

Ssentebe wa Bboodi y’ebyobulambuzi eya Uganda Tourism Board Hon. Daudi Migereko ne Minisita wolukiiko, Kabineeti n’amawulire Owek Noah Kiyimba bebatongozza enteekateeka eno ku mukolo ogubadde ku Bulange enkya ya leero.
Owek Noah Kiyimba asinzidde wano naasaba omukulembeze w’Eggwanga okutongoza olunaku lwa Bulungibwansi owomugundo kisobozese okwongera obuyonjo mu bantu ba Uganda.