kooti olunaku olwaleero esalidde omusirikale wa Uganda Police Force CPL Ssali David ekibonerezo kyakusibwa emyaka 20 mu nkomyo. Ono asingisiddwa omusango gwokkuta omusibe Ronald Ssebulime ku musango gwokugezaako okutta eyali Omubeezi wa Minisita owa ICT era omubaka omukyala owa Kayunga Aida Nantaba Erios mu 2019.