Latest News
0

Omuvubuka ow’emyaka 19 akwatiddwa lwakugezaako kubba bbaasi

Poliisi mu Arua yakutte omuvubuka Andama Juma 19 kubigambibwa nti yabbye Bbaasi ya Kkampuni ya Nile Star Bus nnamba UBF 618T.
Kigambibwa nti Ddereeva bweyabadde abugumya bbaasi eno ku makya mu kifo wezittikira ku luguudo lwa Adumi mu Arua Municipality okwetegekera olugendo lw’e Kampala, Andama atali mukozi yamulabirizza nayingira bbaasi eno nagisimbula nga erimu abasaabaze 16 . Kigambibwa nti yagivugidde kiromita nga 5 ku luguudo oludda e Kampala okutuuka mu kabuga k’e Odianyadri mugombolola y’e Vurra mu Disitulikiti y’e Arua.
Kigambibwa nti ttanibboyi yabukidde bubukizi bbaasi eno nga tategende nti Ddereeva agisimbudde si yemutuufu wabula oluvannyuma yakizudde era nakubira abakulira Kkampuni eno. Poliisi yatemezeddwako eyagenze nekwata omuvubuka ono eyabadde akubiddwa abantu nga kati akuumirwa ku Poliisi ya CPS mu Arua.
Ekigendererwa ky’omuvubuka ono tekinnamanyibwa wabula nga yatwaliddwa okwekejjebwa obwongo nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

More Similar Posts

Menu