Omubaka Zaake bumukeeredde Sipiika amusindise mu kakiiko ka mpisa

Omukubiriza w’Olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yasindise omubaka era Munnakisinde kya People Power – Uganda owa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi mu Kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa ku bigambibwa nti yasiiwuse empisa nayambalira Ssenkulu wa Ssetendekero wa Makerere Prof. Barnabas Nawangwe.

Obuzibu bwatandise lunaku lwakusatu Prof. Barnabas Nawangwe bweyabadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaaynizibwa ku by’enjigiriza n’abakungu abalala bannyonyole ekyaviirako abayizi okwekalakaasa nebigambibwa nti abayizi batulugunyizibwa, Omubaka Zaake weyamusabidde annyonyole ku bigambibwa nti bakubira bazadde b’abaana abawakanya amateeka ga University amasimu nga ababatiisatiisa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
zaake aweereddwa bail