Latest News
0

Musinyoli Joseph Mary Kasule ajaguzza okuweza emyaka 50 mu busaserodooti.

Musinyoli Joseph Mary Kasule ajaguzza okuweza emyaka 50 mu busaserodooti.

Omukolo gubadde mu maka ga bazaddebe ku kyalo Gulama e Masaka.

Omusumba we Ssaza ly’e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa yakulembeddemu okusaba wamu n’omusumba omuggya Serverus Jjumba.

Omusumba Kaggwa asabye abakkiriza okunywerera ku Katonda okusobola okutuuka ku buwanguzi.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti omusaserodooti yenna asaanye okubuulira abantu ebigambo by’eddiini wamu n’eby’ensi ebireeta enkulaakulana nga kino Musinyoli Kasule akituukirizza mu buweerezabwe.

Omwami w’essaza ly’e Buddu, Pookino Jude Muleke asinzidde wano neyebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa omulembe gwe abavubuka, naasaba ne Gavumenti eya wakati ekoppe enkola eno.

Ku mukolo gwegumu ne Musinyoli Francis Xavier Kibirige naye ajaguzza okuweza emyaka 50 mu busaserodooti.

More Similar Posts

Menu