Latest News
0

Mugamba mutya nti nasobya ku bayizi nga natomerwa endiga – Wamala

Nannyini ssomero lya Wamala erisangibwa e Mpigi agambibwa okusobya ku bayizi Wamala yatwaliddwa ew’omusawo okumwekebejja alabe oba nga ddala yatomerwa endiga. Ono okumutwala ew’omusawo kyaddiridde okwegaana omusango gw’okusobya ku bayizi n’agamba nti ye yatomerwa endiga era nga talina maanyi g’akisajja.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti okunoonyereza ku Wamala ku by’okusobya ku bayizi kukyagenda mu maaso era yatwaliddwa ew’omusawo wa poliisi okumwekebejja bazuule oba omusango yaguzza oba nedda.
Yagambye nti Wamala akuumirwa mu kaduukulu ka Poliisi e Nateete nga balina okusooka okumwekebejja okuzuula embeera y’obulamu bwe ne by’agamba eby’obutaba na maanyi ga kisajja.
Yayongeddeko nti alina okunnyonnyola ekyamuddusa okuva mu maka ge e Nsangi n’agenda e Luweero gye baamukwatidde.

More Similar Posts

Check Featured Posts
Menu