Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’ebyenjigiriza n’emizannyo Hon Chrysostom Muyingo avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa Hon. Ssewungu Gonzaga nti Minisitule egenda kusaasanya akawumbi 1 Minisita Janet Kataaha Museveni bwanaaba asisinkana Ababaka e Kololo okwogera ku nsonga y’okuggulawo amasomero olunaku olw’enkya.