Latest News
0

Luwalo lwaffe; Ab’e Ssaabawaali bakiise embuga

Abatuuze okuva mu muluka gwe kavule matugga ssaabawaali gombe, baleese oluwalo lwa mitwalo ana.
Bakulembeddwamu Nakachwa Margaret omuzaana wa Kabaka mu kitundu ekyo.

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu muluka gwe Kavule Matugga, Ssaabawaali Gombe, bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe nebagula satifikeeti za mitwalo ana (400,000).

Bano bakulembeddwamu Mukyala Nakachwa Margaret atwala omuluka ogwo.

Minisita w’amawulire era omwogezi w’obwakabaka Owek Noah Kiyimba yabatikkudde ettu lino.

Mu bubaka bwe, Owek Kiyimba asabye abakyala okuteeka essira ku kusomesa abaana era bamanye n’omugaso gw’okusomesa omwana. Era abasabye okufaayo ku nkuza y’abaana kubanga bebasinga okumala obudde obungi n’abaana.

Mu ngeri yeemu abasabye okukuuma obutonde bwensi nga basimba emiti. Era babeere bayonjo beewale endwadde.

Abakubirizza okwekebeza endwadde bamanye bwebayimiridde basobole okwejjanjjabisa naddala akawuka ka mukenenya.

Mukyala Nakachwa Margaret yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okumulengera naamuwa obwami mu kitundu kye Kavule era asuubizza okukozesa obuvunaanyizibwa obwo okuleetawo enkulaakulana mu bantu beeyo naddala mu bakyala. Nakachwa akubirizza bakyala banne obuteenyooma, banyikire okukola basobole okusitula embeera zaabwe.

More Similar Posts

Menu