Police bagigobye lwa kukeerewanga kutuuka wali buzibu – Mayuge

Abatuuze mu town Council ye Mayuge ekisangibwa mu Disitulikiti ye Mayuge batabukidde Police era nebagigobaganya lwa kutuukanga nga babalanga okulwangawo okutuuka bwebaba babategeezezzaako nti waliwo obuzibu mu kitundu kyabwe.

Kino kiddiridde omuliro okukwata enjo ya omu ku munnaabwe nga musomesa mu ssomero lya Baliita Primary school nemutokomokeramu ebintu nfofoolo kyokka abatuuze bwebakubidde Police nelwawo okutuuka.

Police egenze okutuuka nga ebintu byonna muyonga olwo abatuuze ababadde bataamye obugo nebagiragira eddeyo nga bagiranga obutaba namugaso.

UECCC partners with Banks to give loans for solar systems

The Uganda Energy Credit Capitalization Company (UECCC) has partnered with various Participating Financial Institutions (PFIs) to implement a Solar Loan Programme that entails provision of concessional loans to households and businesses wishing to acquire solar systems.
This was revealed by the Director Transaction Execution of UECCC, Mr. Roy Nyamutale Baguma during a ceremony to officially commence market activation of the Solar Loan Product at Finance Trust Bank, Gomba district.
“The aim of the Solar Loan Programme is to enable access to electricity in off grid areas through addressing the affordability barrier arising from the up-front cost of solar systems,” said Mr. Baguma.
Through the Programme, partner credit lending institutions will target individual customers, group customers, and salaried employees who wish to acquire solar systems for use in their homes and business premises.
The solar systems that can be acquired under this scheme include; Solar Home Systems
that meet the basic domestic electricity needs and Commercial Systems that cater for
electricity requirements of small scale enterprises in both urban and rural areas.
This initiative is being promoted through partnerships with Finance Trust Bank, Post Bank, Centenary Bank, Opportunity Bank and Pride Micro finance.
UECCC was established by the Government of Uganda six years ago and is in place to facilitate investments in Uganda’s Renewable Energy (RE) Sector.
The Company’s main objective is to provide financial, technical and other support for renewable energy development in Uganda, with a particular focus to enabling private sector participation. In this regard, UECCC provides Technical Assistance and new Financing Options for RE projects.
By Joshua Mutale

Omusajja asse abaana be 2 naye neyetta

Abatuuze ku kyalo ekimu mu Disitulikiti ye Iganga baguddemu ekikangabwa enkya ya leero bwebugenze okusaasaana nga mutuuze munnaabwe myaka 30 atirimbudde abaana be babiri ate naye ne yeggya mu budde.

Wabula ekiviiriddeko omusajja ono okukola obutemu buno tekinnategeerekeka naye nga abatuuze ku kyalo kino ekiri mu bitundu bye Bugweri mu Disitulikiti ye Iganga bagamba nti omusajja ono abadde yatabukamu ku mutwe okuva mukyalawe lweyamusuulira abaana bano.

Abaana bano kati abagenzi bc babadde  ba myaka 3 ne 5.

Lino litusakiddwa Willy Basoga Kadama e Iganga.

 

 

Muwala wa omubaka wa Palamenti afiiridde mu Kabenje e Ntebe

Muwala wa omubaka wa Palamenti owa Municipali ye Ntebe Rosemary Ninsiima afiiridde mu Kabenje e Ntebe enkya ya leero.

Doreen Toshobya akoonedwa ekimotoka ekyetikka omusenyu okuliraana Paaka ya Muzinga mu maaso ga amaka g’obwa Pulezidenti e Ntebe. Tashobya nga abadde yaakatikkirwa mu Makerere University Business School abadde avugibwa ku ka Bodaboda Patrick Busingye omukozi mu maka g’omukaba nga agenda ku Dduuka lye erya Mobile Money erisangibwa e Ntebe.

Godfrey Ninsiima aduumira Police e Ntebe, agamba nti Ddereeva w’emmotoka y’omusenyu ayingiridde  Bodaboda ebadde ekyama okuva ku luguudo ababiri bano nebafiirawo mbulaga.

Owa Bodaboda tasimattuse kabenje ku luguudo Sir Kaggwa

Alpha Kimbowa nga mugoba wa Bodaboda e Maganjo yaafiiridewo e mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa okuliraana enkulungo ye Bwayiise e ttuntu lya leero.

Abeelabiddeko n’agaabwe bagamba nti mmotoka kika kya Isuzu Canter ebadde yeetisse amanda ebadde ewenyuka neetomera Premio UAT 469H ne Benz UAY 413 olwo neegoyeramu Bodaboda Alpha kw’abadde naafa. Oluvannyuma Police ezze bukubirire neggyawo omulambo n’egutwala mu ddwaliro nga bwekola okunoonyereza.

Ba Kansala bateeseze mu nnimi ennansi – Katikkiro Mayiga

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awagira ekya ba Kansala okuteeseza mu nnimi ennansi basobole okutegeera obulungi enkola wamu n’empeereza ennungi eri abantu bebakiikirira. Bino abyogedde nga asinziira ku ngeri ba Kansala gyebaatuuyanyeeemu n’olungereza ggyo ly’abalamu nga baluba ebirayiro ky’agamba nti singa tebateesezza mu lulimi nnimi zebategeera kyakuzinngamya empeereza yaabwe.

Katikkiro ayongerako  nti okwogera obulungi Oluzungu ssi bwebumanyi wabula kulaba nga abalondedddwa basobola okuweereza abantu obulungi.

Katikkiro okwogera bino abadde mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange Mengo nga Minisita webyensinbi Owek Robert Wagwa Nsibirwa asoma embalirira ya Buganda ey’omwaka 2016 /2017 esoba mu buwumbi 73.

  1. Olukiiko luno lwetabiddwamu Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Minisita wa Kamp Kampala Betty Kamya, omubaka Kiwanda Ssuubi, Joseph Ssewungu n’abagenyi abalala.

Tetugenda kukkiriza bamusiga nsimbi baavu – Minisita Anite

Minisita avunaanyizibwa ku kwetundako amakampuni ga Gavumenti agatakola magoba wamu ne bamusiga nsimbi Everyn Anite yeerayiridde okulwanirira abantu okufuna emirimu era n’akakasa nga bw’atagenda kukkiriza bamusiga nsimbi baavu mu ggwanga.

Okwogera bino yabadde amaze okukakasibwa akakiiko ka Palamenti akasunsula abo abalondedddwa Pulezidenti mu bifo by’obwa Minisita.

Anite abadde Minisita w’abavubuka n’abaana mu kisanja ekiwedde nga kati yasikiddwa Nakiwala Kiyingi ate ye n’azzibwa ku kuvunaanyizibwa ku kwetundako amakampuni ga Gavumenti agatakola magoba ne bamusiga nsimbi.

Abalonzi baagala kusuuza Namuganza bwa Minisita

Abalonzi okuva mu gombolola ye Ivukula ekiri mu ssaza ly’ e Bukono ekisangibwa mu disitulikiti ye Namutumba bawandiikidde akakiiko ka Palamenti aka Parliaments Appointment’s Committee, nga kano kekavunaanyizibwa ku kukakasa abantu abalondeddwa Pulezidenti nga era kakulemberwa Sipiika Rebecca Kadaga nga bakakasa obutaksakasa mubaka waabwe Persis Namuganza kubwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka .

Mu kiwandiiko kyebakwanze Kadaga  nga kiriko emikono gya bantu 500 abalonzi , bagamba nti Namuganza empapula z’obuyigirze yagingirira ngingirire .

Bano ekiwandiiko bakyetwalidde bennyini ku Palamenti nga bakulembeddwamu Joseph Kirunda omu ku baanonyeza Namuganza akalulu .

Kirunda ne banne bwetubabuuzizza oba nga tebali mu kukozesebwa bagambye nti bakikoze ku lwabwe .

Namuganza nga tannayingira mu byabufuzi yali mumyuka wa RDC e Luwero .