Fuso enyize bataano, 1 mufu – Masaka.

Javiira Mukasa myaka 32 omusuubuzi wa kasooli e Kyabakuza afiiriddewo mbulaga n’abalala bana nebamenyeka emikono n’amagulu. 

Akabenje kano kagudde mu kabuga k’e Kyabakuza mu Disitulikiti ye Masaka Fuso namba UAS 808B ebadde yetisse kasooli eremeredde omugoba waayo n’edda ekyennyumannyuma n’enyiga Javiira abaddeko byagula ku dduuka n’ akutukirawo ate abalala ne baddusibwa mu ddwaliro nga emikono gimenyese.

Ayogerera Police mu bitundu bya Masaka Afande Ibin Ssenkumbi akakasizza akabenje kano. Kit

Omubaka Kafeero Ssekitoleko bamuzizza mu kooti lwa buyigirize .

Omubaka Eng .  Robert Kafeero  Ssekitooleko eyakalondebwa ku kisanja kye ekyokubiri okukiikirira essaza lye Nakifuma atwaliddwa mu kooti enkulu e Jinja lwabuyigirize bwe kuteebererzebwa kuba bwa munguuba ..

Sekitooleko attwaliddwa mu kooti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda akaategeka ekulonda mu mwezi gwokubiri ate nekakkiriza omuntu atalina buyigiriza bumugwanyiza kuvuganya ku kifo .

Kawombe Lameka y’atutte omusango guno mu kooti .

Olutalo lwa Omuloodi Lukwago ne Musisi lukyalanda .

Jennifer Musisi LukwagoObutakkaanya wakati wa Omuloodi wa Kampala omulonde Erias Lukwago ne nankulu w’ekitongole ekitwala Kampala Jennifer lukyali namulanda nga mabeere ga mbwa , nga bannamateeka ba KCCA bagamba nti ssiwakutuula mu ofiisi ya bwa Meeya okutuusa nga omusango oguli mu  kooti  ejulirwamu gusaliddwa . 

Ko akakiiko ka Palament ku nsonga z’obwa Pulezidenti n’ensonga z’ebweru w’eggwanga kawuliriza banamateeka ba KCCA nga bagamba nti ekiragiro kya kooti kiyinza n’obutamuganya kulayira nga Meeya  .

Wabula bo ababaka ba Palamenti omuli Odonga Otto – Aruu County n’abalala abatuula ku kakiiko kano batadde abakungu ba KCCA  ku nninga bannyonnyole engeri obukuubagano buno gyebunnaggwamu Lukwago asobole okutuula mu ofiisi ye

Ababaka bongeddeko nti katemba w’okuggala ofiisi y’obwa Meeya ateekwa okukoma mbagirawo .

Abakungu ba KCCA bakulembeddwa Minisita wa guno naguli Eng . Ibrahim Byandala nga balabiseeko eri akakiiko kano akakulirwa omubaka akiikirira  essaza lye Nyabushozi Fred Mwesigye okunnyonnyolera embalirira yaabwe ey’omwaka 2016/ 2017  .

Kadaga atwaliddwa mu kooti lwakuteeberezebwa kubba kalulu .

Omukubiriza wa Palamenti  Rebecca Alitwala Kadada akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakuteeberezebwa kubba kalulu akamukomyawo mu palamenti ng’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kamuli .

Deborah Mwesigwa Mugerwa eyavuganya Kadaga naafuna obululu 20.000 ate Kadaga 80.000 , addukidde mu kooti nga avunaana Kadaga olw’okuteeberezebwa okubba akalulu .

Solomon Baleke y’alikunganyizza  . 

Dr. Besigye agombeddwamu obwala.

Col Dr Kizza Besigye wetwogerera nga Police emugombyemu obwala era akuumirwa ku Police station ye Nagalama.

Col Besigye Police emuyooledde Mulago bw’abadde avudde mu makage e Kasangati gy’abadde asibiddwa okumala ennaku ezisoba mu 40 nga ayolekera ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi okwetaba mu kusaba okubaawo buli lwakubiri.

Besigye abadde awerekerwako namungi w’abantu era nga mu kuggyawo Besigye, Police emuyisizza Kololo okumwolekeza Police ye Nagalama gy’akuumirwa mu kaduukulu.

Police tegenda kwamuka bitundu okutuusa nga Museveni alayiziddwa – Enanga

FB_IMG_1456127600741

Police egamba nti tegenda kuva mu bitundi ebyenjawulo okutuusa nga Pulezidenti omulonde Yoweri Kaguta Museveni alayiziddwa mu gwokutaano omwaka guno .

Kino kiddiridde abantu abamu okwemulugunya nti tekikyetaagisa Police kuba nga ekyali mu bitundu byebaayiibwamu mu biseera by’akalulu , omuli enkulungo ez’enjawulo ssaako n’okutalaaga ebitundu by’ekibuga ebitali bimu .

Enanga agamba nti baafuna amawulire nti waliwo abaagala okutabangula eddembe balemese okulayiza Pulezidenti Police kyetagenda kukkiriza .

Wall collapse kills a pupil

A primary school pupil in Iganga has been killed and three other people seriously injured after a wall collapses on them at Idudi trading center along Iganga-Tororo road.

The wall is said to be from a building owned by 3rd Deputy Prime minister Al Hajji Kirunda Kivejinja.

Police has arrived at the scene and has taken the body to a mortuary

By Wily Basoga kadaama in Iganga