Eyasangibwa ng’akalirira Enkima akaligiddwa emyaka 3

Ayusi Ssuuna yasangibwa mu kibira kye Kitubulu e Ntebe ng’akalirira Enkima naagombebwamu obwala abaserikale b’ebibira.

Omusajja ono bwasimbiddwa mu kooti mu maaso g’omulamuzi mu kwewozaako kwa n’agamba nti ye Enkima yagiggya ku kkubo ng’etomeddwa mmotoka era nti ye ekika kyabwe kirya Enkima.

Wabula Omulamuzi ebyo naabigaana era naamusindika mu nkomyo akuluunguleyo emyaka esatu.

Owa 57 attiddwa lwakuteeberezebwa kubba Mbuzi na Nkoko.

Kintu Robert myaka 57  omutuuze ku kyalo Budantemwa mu ggombolola ye Butayunjwa mu Disitulikiti ye Kamuli akubiddwa mizibu naafa lwakukwatibwa na Mbuzi wamu ne nkoko ebibbe. 

Abatuuze bamuguddeko ekiyiifuyiifu nebamukuba emigoba nte egimuserengesezza e kalannamo nga ebintu byabbye bibalirirwamu akakadde kamu n’ekitundu.

Police ezze bukubirire neggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro lye Kamuli nga bw’ekola okunoonyereza. Kitalo ekyo.


 

Mufti Mubajje meets Muslims Leaders in Bugisu, Teso & Lango Regions

In his ongoing working tour of Eastern and North Eastern Uganda, His Eminence the Mufti of Uganda Shk. Shaban Ramadhan Mubaje has addressed Muslim leaders in the Districts of Mbale, Sironko, Kumi, Soroti and Lango.
His latest meeting was held today with the Muslim leaders of Lango Muslim District at the Lango Muslim District Council headquarters in Lira town. The Mufti pledged 1 million shillings towards the construction of Angecha Primary School in Lira municipality.
In Kumi, the Mufti toured Muslim projects before having a meeting with the Kumi Muslim District Council leaders at Kumi Township Primary School. During this meeting, Shk. Abdulwahab Kawuta was appointed the Ag. District Kadhi of Kumi Muslim District replacing Shk. Haruna Ochom who accepted to step aside in the process of streamlining unity and development programs in the District.
The Mufti also broke the ground for the construction of a convert center in Kumi town.
He later met Muslim women leaders who commended him for championing the Muslim unity and development drive. They informed him about their plans to meet the President of Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni and sought his guidance on the same.
In Soroti, the Mufti and his delegation visited the Islamic Health Unit, Camp Swahili Early Childhood Development education center and Muslim projects before addressing Muslim leaders at Villa Nova guest in Kikinjagi zone in Soroti town.
He was also given documents of Muslim properties in all the districts he has visited.
In all his meetings with both Muslim leaders and local government leaders in the regions visited, the Mufti called for cooperation between District Kadhis and District local government leaders.
He pledged to source for development partners especially in the area of uplifting Muslim education standards in the districts visited and Uganda as a whole.
He brought all conflicting Muslim leaders in each Muslim district on a round table and urged them to put the interests of Islam and UMSC before their personal interests.
He was dismayed by attempts by individuals who are attempting to grab Muslim properties and urged Muslims to be vigilant and to bring such cases to the attention of relevant UMSC officials.
The Lango sub region Police Commander Ematu John Peter urged Muslims in Lango to take the Mufti’s message seriously and work towards Muslim unity and development.
By Joshua Mutale

Bobi Wine Drags Ug-EC to court

Local artiste Robert Ssentamu Kyagulanyi commonly known as Bobi Wine has dragged the Electoral Commission to Commercial Court for allegedly infringing on his song titled Obululu Tebutwawula.

Kyagulanyi accuses the electoral body of unlawfully fitting portions and contents of his song into its advert which was released in both English and Luganda and played on FM stations and Televisions all over the country and neighboring countries via internet during the campaign period.

He adds that he discovered the infringement in 2015 and was done without his knowledge and consent and it was intended to benefit the Commission.

The singer, claims that as a result of the infringement his song has been pirated and plagarised and have lost value and cannot attract a sponsor for launching.

He further contends that he has suffered embarrassment and humiliation in his dealing with various stakeholder including government agencies and players who are no viewing him as a traitor.

He wants Court to declare that EC infringed on his copyright and privacy and order it to compensate him for investment in the composing, instrumenting, demo recording and recording rights in his song.

Court has now summoned EC to file defence with 15 days before the case is set for hearing.

By Joshua Mutale

Police erangiridde okulemesa aba FDC okwekalakaasa

Police ekalambira nti tegenda kukkiriza ba FDC kwekalakaasa kwebateeseteese nga 05.05.2016 okugendereramu okulemesa Pulezidenti Museveni okulayira okuliyo nga 12. 5. 2016.

Aba FDC baagala wabeewo akakiiko akeetongodde okwekenneenya ebyava mu Kalulu k’obwa Pulezidenti akaaliyo mu February yomwaka guno 2016.

Amyuka omwogezi wa Police Polly Namaye agamba nti Police tegenda kulonzalonza oyo yenna ayagala okwekalakaasa okulemesa emikolo gyokulayira era ayongerako akeedoomo kamenya mateeka.

Namaye bino abituuseeko bwabadde ayogerako mu Lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya Police e Nagulu .

Abadde alambula ekibanja okukigula atondose naafa

Ategeerekeseeko lya Moses okuva e Mutundwe mu Kampala abadde amaliriza okulambula ekibanja naagwa eri naafa. 

Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Nsaabwa ekiri mu ggombolola ye Butayunja mu Disitulikiti ye Mityana nga afudde abadde alambuzibwa ekibanja nga kya mugenzi Kisitu Lawrence batabanibe.

Nga bamalirizza okulambula ekibanja,  omusajja ono ateeberezebwa okuba mu myaka 33-35 atandise okuvaamu omusaayi gattako okukolola era naakataayi tekasaze nakkirira e kalannamo.

Wabula abantu babadde batandise okubitebya nti lyaliba eddogo wabula obooluganda lwomugenzi ne bagamba nti omusajja abadde n’ekirwadde ky’omutima nga yaaliba yeerabidde okumira eddagala ng’ava awaka.

Lino litusakiddwa Joseph Balikuddembe e Mityana.

Abalamuzi 26 balondeddwa okuwulira emisango egikwata ku byokulonda

Abalamuzi 26 okuva mu kooti enkulu balondeddwa okuwulira emisango 118 egikwata ku kulonda kwababaka ba Palamenti wakati w’ ogwokutaano n’ogwomukaaga  omwaka guno .

Akulira abalamuzi mu kooti ensukkulu yaagabanyiza emisango gino eri abalamuzi 26 egigenda okuwulirwa mu kooti 13 ezenjawulo omuli Kampala, Jinja, Mbale, Soroti ,  Masaka , Mubende,  Kabale Fortportal, Masindi ,Mbarara, Gulu , Lira ne Arua .

Bino bifulumiziddwa akulira ebyempuliziganya mu kitongole ekiramuzi Solomon Muyita .

NRM ekkirizza Ssekikubo okuvuganya ku kyobumyuka bwa Sipiika .

Akakiiko ka NRM akebyokulonda kakakasizza omubaka akiikirira Lwemiyaga mu Disitulikiti ye Sembabule Theodore Sekikubo okuvuganya ku kifo kyobumyuka bw’omukubiriza wa Palamenti nga awo baba baweze mukaaga abali ku kaadi ya NRM .

Ssekikubo empapula azifunidde ku kitebe ky’akakiiko ka  NRM akebyokulonda era nga Ssentebe w’akakiiko ka NRM akebyokulonda Dr. Tanga Odoi yaakakasizza kino .

Ssekikubo alayidde okuleetawo enkyukakyuka mu byobufuzi bwa Yuganda singa aba aweereddwa entebe eno .