Abantu 6 balumiziddwa mu kabenje e Jinja

ABANTU 6 BALUMIZIDDWA MU KABENJE:
Abantu 6 balumiziddwa byanssuso mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganda ku Steel Rolling okuliraana Kampala University Jinja Campus takisi nnamba UBB 195G bweremeredde omugoba waayo oluvannyuma lwokutomerwa FUSO ebadde ewewunyuka obuweewo neggwa neyefuula.
Abalumiziddwa baddusiddwa mu Ddwaliro lya Jinja Refferal Hospital ekitongole kya Uganda Red Cross Society.
📸 Uganda Red Cross Society

Pulezidenti Museveni asisinkanye abawagulwa mu Kampala

PULEZIDENTI MUSEVENI ASISINKANYE BANNAKIBIINA ABAWANGULWA MU KAMPALA: https://youtu.be/7tpXm6QygnE
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nsisinkanye ekibinja kyabakwatira National Resistance Movement – NRM bbendera ku bwa Kkansala nobwa Ssentebe abawangulwa mu Kampala. Bambuulidde ensonga eziwerako zetwetaaga okukolako ng’ekibiina era ndi mwetegefu okusisinkana abantu baffe okuva mu bitundu ebirala.”

Ssegiriinya Muhammed yasoma – Akakiiko k’ebyokulonda

Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda kavuddeyo nakanukula okwemulugunya kwa Sulaiman Kidandala bweyavaayo ngawakanya obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NUP Mohammed Ssegiriinya kati ali mu kkomera.

Kidandala omwezi oguwedde era yaddukira mu Kkooti Enkulu mu Kampala ngayagala esazeemu okulangirirwa kwa Ssegiriinya nti talina buyigirize bumala kumufuula mubaka wa Palamenti.

Wabula akakiiko k’ebyokulonda kakamutemye, Barbra Mulimira Returning Officer wa Kampala Electoral District avuddeyo nategeeza okuwandiisibwa wamu n’okulondebwa kwa Ssegiriinya kwakolebwa nga bagoberera amateeka agetekebwawo okuluŋŋamya ebyokulonda mu Ggwanga.

Okusinziira ku kirayiro kya Mulimira, kiraga nti Ssegiriinya yakomyawo Nomination Form nga ataddeko ebiwandiiko bye ebiraga nti yasoma Siniya eyokuna wamu ne Siniya eyomukaaga nga zonna ziri mu mannya Ssegirinya Richard okuva Pimbas Secondary School wamu n’ekirayiro kyeyakuba nga akyuusa amannya okuva mu “Segirinya Richard” okufuuka “Segirinya Mohammed”.

Kino kitegeeza nti okuwandiisibwa, okulondebwa wamu n’okuteeka erinnya lya Ssegirinya mu Gazette Akakiiko k’ebyokulonda ng’Omubaka wa Kawempe North omulonde kyakolebwa mu mateeka oluvannyuma lwokukizuula nti yasoma Siniya eyomukaaga era yewandiisa ng’omulonzi wamu nebyetaago ebirala.

Tuli bamativu n’ebyava mu kulonda – Justice Byabakama

EBYAVA MU KALULU TULI BAMATIVU NABYO: https://youtu.be/e9J3VpZPzK8
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama avuddeyo nakikaatiriza nti akalulu kabonna akaliwo mu January 2021 kaali kamazima n’obwenkanya, tekaalimu vvulugu yenna era nga kesigika awatali kubuusabuusa kwonna.
Ayongeddeko nti Akakiiko k’ebyokulonda kamativu n’ebyavaamu.
Omulamuzi Byabakama era ategeezezza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku Ddembe ly’obuntu akanoonyereza ku vvulugu eyali mu kulonda omwali ne ba presiding officer abagambibwa nti bakyuusa ebyava mu kulonda byabaali besimbyewo abamu. https://youtu.be/e9J3VpZPzK8

Ebintu byabuwumbi bigiiridde mu muliro

EBINTU BYABUWUMBI 7 BIGIIRIDDE MU MULIRO:
Ekitongole kya Uganda Police Force ekizinyamwoto kimaze essaawa eziwerera ddala 3 nga kirwanagana n’omuliro ogwakutte ware house za Madhivani ku 5th Street, Industrial area, Kampala.
Omuliro gwakutte sitoowa ya Star Pharmaceuticals Limited, Joint Medical Store (JMS) ne Mi-Tech.
Kigambibwa nti omuliro gwatandikidde mu kisenge ayokya ebyuuma weyabadde akola nga muno mwabaddemu ebookisi z’ebintu ezakutte omuliro.
Mw. Bildard Baguma, Executive Director wa JMS, agamba nti ebintu ebiwereza ddala obuwumbi 7 byebitokomokedde mu muliro luno n’eddagala eriwerako. Agamba nti era n’ebitanda bya ICU ebiwerako nabyo bigiiridde mu muliro guno.