Kitalo! Babiri bafiiridde mu kabenje e Lukaya

Kitalo!
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde okuliraana Lukaya Town Council e Lukaya mu Disitulikiti y’e Kalungu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Akabenje kano kaguddewo mu ttuntu olunaku olwaleero emotoka ekika kya FUSO ebadde yetisse obumonde nga eva Kisoro okwolekera Kampala bwetomereganye ne FUSO endala ebadde yetisse amatooke nga eri ka mabbali g’oluguudo.
Abadduukirize bakozesezza embazzi okusobola okuttema emotoka okuggyamu emiramno.
Abafudde kuliko Abbas Basajjamivule, omutunzi w’amatooke e Kitemu mu Kyengera Town Council ne Abraham Birungi nga abadde ‘Turn Boy’ wa FUSO y’obumonde.
Kigambibwa nti ddereeva wa FUSO ebadde etisse obumonde abadde avugisa kimama nga agezaako okuyisa emotoka 3 omulundi gumu neyekanga emotoka ebadde eva mu maaso nemulemerera nawaba natomera emotoka ebadde ebbali w’ekubo, era nga olumaze okukola akabenje nadduka.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Police officer Arrested Over Possession of Python Skin.