Mw. Ssentamu abadde azze okulaba n’okulondoola omukago Obwakabaka gwebwatta ne Rotary wegutuuse. Ssentamu yebazizza Katikkiro okulambika obulungi ebyo Rotary byetuuseeko nga eri wamu n’obwakabaka naddala mu kutumbula eby’obulamu.
Katikkiro ategeezezza nti yenyumiriza nnyo mu banna Rotary kubanga baggusa ensonga era kaweeufube w’okutumbula eby’obulamu mu Buganda akwatiddwa kinnawadda wamu ne kaweefube w’okusimba emiti okusobola okukuuma obutonde bwensi.
Mu kaseera kekamu, Katikkiro asisinkanye abakulembeze b’ekibiina kya Rotary ekya Kampala North abazze okumwebuuzaako ku ngeri ki gyatambuzaamu emirimu nakusomoozebwa ki kwasanze.
Mu kwogerako gyebali, Katikkiro agambye nti emirimu gyonna egy’obwakabaka gyesigamiziddwa mu nsonga ssemasonga ettaano eziri mu Nnamutaayika w’obwakabaka 2018-2023.
Agambye nti byonna ebituukiddwako bizzeewo lwa buyiiya, bunyiikivu, bweerufu, n’okwagala.
Agasseeko nti obwannakyewa bwakendeezebwa abantu basobole okuwaayo obudde obumala ku mirimu gyabwe.
Kinajjukirwa nti obwakabaka bwatta omukago ne Rotary okunnyikiza kaweefube w’okukuuma obutonde bwensi n’okutumbula eby’obulamu.