Katikkiro agugumbudde abo bonna abatunda ettaka ly’olubiri lwa Mujaguzo

Katikkiro agugumbudde abo bonna abatunda ettaka ly’olubiri lwa Mujaguzo e Kabowa wamu naabo abakyalizimbako okukikomya mu bunambiro bwatyo nabajjukiza nti ettaka lino lya nnono.

Okwogera bino kiddiridde okulambula embuga z’engoma enkulu mu Buganda ezisangibwa ku ttaka lino, omuli; Kawuula, Kireega, Kimoomera, ne Mujaguzo Kawulugumu, eriweza yiika 40 wabula nga ezisinga obungi zatundibwa.

Owek Katikkiro asinzidde wano naategeeza nga enteekateeka bweziwedde ez’okuzimba bbugwe okwetooloola Olubiri lwa Mujaguzo nga kino kikoleddwa okwetangira banna kigwanyizi abaagala okubba ettaka lino.

Minisita w’embiri, ennono, obuwangwa n’obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male, asabye abo abaaweebwa obuvunaanyizibwa okukuuma olubiri luno okumanya omulimu ogwabaleeta kubanga tebalina bwannannyini mu kifo ekyo bubakkiriza kutunda bifo bya nnono.

Katikkiro awerekeddwako; omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Minisita w’amawulire, Olukiiko, Kabineeti, era Omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, abaami ba Kabaka nga bakulembeddwamu Kaggo, n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abantu abamu be beelemezza mu bwavu – Pulezidenti Museveni