Latest News
0

Fayinolo y’Engule e Lugogo togisubwa

Engule Engule, World Cup Y’olulimi Oluganda Nookumanya Nantaggwa buwoomi efundikirwa ku Ssande eno 1 – December – 2019 mu Multi-Purpose Hall. Tosubwa olukontana Ssemakontana olwessungiddwa ensi yonna n’abakyala babiri bataayiza omusajja bamutirimye okukira enkwale. Tosubwa abakyala Bamunkuutalugolera okuli Omubiito Nakalema Jane, noowobutiko Nantaba Shamim noomwami Bikalumpojja Muyinda Derrick Litemwamukulu. Anaaba Nnangule oba Ssengule? Jangu obeerewo ng’omujulizi. Omuwanguzi wakusittukira mu bukadde 25 okuva mu KCB Bank Uganda ate Endukusa yakwetwalira obukadde 5 okuva mu Harris International Ltd abakolera ebyokunywa bya Riham.

More Similar Posts

Menu