Eyateebwa ku kakalu ka Kkooti azeemu okukwatibwa lwakuwamba bakazi

Poliisi yazeemu okukwata omusajja agambibwa okugunjukira ogw’okusobya ku bakazi nga ono abadde yateebwa ku kakalu ka kkooti omwaka oguwedde mu October nga yali avunaanibwa emisango okuli ogw’obubbi, okusobya ku bakazi wamu n’obutemu.
Baker Walusimbi yeyazeemu okukwatibwa nga kigambibwa nti yatwala ku bakazi 2 mu motoka okuva mu kibuga wakati nga November 8 wabula bweyatuuka ku luguudo lw’e Entebe nabaako wakyaama nga kigambibwa eno gyeyababbirako byonna byebaali balina ku mudumu gw’emmundu mu ngeri yemu gyeyakozesa mu 2005.
Webamuteera omwaka oguwedde ono yali amaze ku alimanda emyaka 12 ku misango omwali okuwamba, okutta, okusobya ku bakazi wamu n’obubbi nga bino yabikola ku bayizi ba Yunivasite mu 2002 ne 2005. Ono abadde yateebwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 20 obutali bwabuliwo.
Walusimbi avunaanibwa emisango 4 egy’obubbi, n’emirala 3 egyobutemu nga kigambibwa nti yatta Moreno Nalubule, omuyizi wa Senior Six ku Makerere College School, Jacqueline Najjombwe and Maria Katasi, nga bombi baali batuuze b’e Najjanankumbi ku luguudo lw’e Entebe nga kigambibwa yabatta mu 2005.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Eyatunze ente eyimirizeewo ttiimu y’omupiira azirise bwebagikubye