Eyafera abantu obukadde 212 asindikiddwa mu komera

Evaristo Ayebazibwe asindikiddwa kkooti ya Law Development Centre ku alimanda lwakufere abantu obukadde 212 nga abasuubiza okubatwala ebweru okukola.

Ayebazibwa yatandikawo kkampuni ey’ekifere nga simpandiise eya Miracle Recruitment Services International Limited nga agamba nti afunira abantu emirimu munsi z’ebweru. Ono okukwatibwa kyava ku bantu abasoba mu 70 okwekubira enduulu ku Poliisi ya Old Kampala era natwalibwa mu kkooti ku misango 25 era nasibwa emyaka 3 wabula ono yakomezeddwawo emisango nebongerako emisango negiwera 70.

Beyafera bagamba nti ono yali yateekawo ssente ezesalira nga Bannayuganda bonna abaali baagala emirimu zebalina okusasula okugeza okugenda e Canada 10M, Qatar 4.5M, Dubai 5M ate nga Sharjah, United Arab Emirates 5M.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
poliisi e kalungu erinnye eggere mu nteekanteeka z’abasamize