Ttiiru Ttiiru Ttiiruula Wetiiyuule mu Kiggunda Ky’omwaka

Wetwogerera nga kati ebula mbale okutuuka ku ntujjo ya Bannayuganda esinga era ebaamu olusabattula lw’endongo nga buli omu amalayo akalimi k’essanyu.

Nabwekityo Simba ewezezza emyaka 19 nga eweereza Bannayuganda era nga kati eyitibwa nnamba emu. Awo ky’eva egabana essanyu lino n’abawuliriza baayo mu Kiggunda Ky’omwaka ekiriyo nga 06 Ogwomunaana (Muwakanya) mu Las Vegas waayo e Kavumba nga osasula 10.000 gwokka . Buli omu luno alwesunga. 

Luboggola egabula ebya Ssava bya Ssekukkulu

Nga bulijjo Radio Simba n’omutima gwayo omugabi, bwebutuuka bwebuti mu biseera by’ennaku enkulu nga Simba eggya gyemulimu nkola ya Ffwmwe Mweffe nga okuyita mu muguuda okugabula ebitereke by’ennaku enkulu  ebijjudde ebyassava.

Ne ku mulundi guno Omuguuda wa Luboggola yatandise dda okutabaala mu bawuliriza ba Empologoma y’eddembe nga yatandikidde Kamwokya, wuuyo Kalerwe, wuuli Matugga, wuuno Kawempe n’ebitundu ebirala njolo nga aleka abawuliriza bafunye ebyassava  era nga basagambiza ng’akimezezza okw’enjala.