Eng. Magogo asingisiddwa omusango gw’okutunda ticket za World Cup

#SimbaSportsUpdates;
Ssentebe w’Akakiiko akakwasisa empisa mu kibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna ekya Fédération Internationale de Football Association aka Independent Ethics Committe kavuddeyo nekasalira Omukulembeze w’Omupiira mu Ggwanga Eng. Moses Hassim Magogo Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) era member ku Confederation of African Football Executive Committee omusango ogwamuwaabirwa nga 23 July 2018 ku bigambibwa nti yatunda ticket 177 ezaali eza FIFA World Cup Brazil 2014.
Bamuwadde fine ya CHF 10,000 mu za Yuganda bwebukadde 37 mu za Yuganda wamu n’okugobwa mu kintu kyonna ekyekuusa ku by’omupiira wano mu Ggwanga n’ebweru okumala emyezi ebiri.
Ekibonerezo kino kitandise lwaleero nga 10 – Oct – 2019.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Poliisi yakola bubi okumenya endabirwamu y’emotoka ya Bobi Wine – HE. Museveni