Latest NewsSports
0

Emisango gya Magogo gituuse ewa Minisita

Ebya Eng. Moses Magogo eyayimirizibwa okumala emyezi 2 ku bwa Pulezidenti bw’ekibiina ekikulembera omupiira mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bamulanga okutunda tiketi z’omupiira ezaweebwa Yuganda ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna eka FIFA World Cup kati ate Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nategeeza nti ensonga yemu bagitunulamu oluvannyuma lwa Bannamateeka ba Mulindwa Associate and Co. Advocates okuwandiikira Minisita nga bemulugunya ku nsonga yemu. Minisita agamba nti ensonga eno baagiweereza ewa Kaliisoliiso wa Gavumenti, Solicitar General wamu ne Minisitule y’ebyekiramuzi bagitunulemu bawabule.
Tags:

More Similar Posts

Check Featured Posts
Menu