GossipLatest News
0

Bobi Wine akozesa nnyo abantu – King Micheal

#Wolokoso;
Omuyimbi King Micheal and the Dance Hall Crew avuddeyo naddiza Omubaka wa Kyaddondo Roebrt Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine Munnakisinde kya People Power – Uganda nga agamba nti abayimbi n’abantu abalala batandise okuwabulira People Power Our Power olwokuba mukodo nnyo ate yerowoozaako yekka.
King Micheal agamba nti amanyi Bobi Wine okusinga abantu abalala bonna kuba ye aliwo kukozesa bantu. Ono agamba nti yamuyimbira nga ku One Love Beach Busabala n’abayimbi abalala naye nga tayagala kubasasula.
King Micheal agamba nti ayagala omuntu aveeyo amulage omuntu yenna Bobi Wine gwayambye. Agamba nti yasanyukidde nnyo mutoowe Eddy Kenzo okulaba omusana mu National Resistance Movement – NRM. Ayongerako nti abeera nnyo ne Bebe Cool naye awulira abawagizi ba Bobi Wine nga bamukubira bamusabe obuyambi mbu kuba Bobi Wine tabayamba.

More Similar Posts

Menu