Bebe Cool lwaki oyagala bakuwaane ku byotakoze – Eddy Meziah

#Wolokoso
‘Mpagira Bebe Cool naye sibuli kimu kyakola nti nkikiririzaamu.
Bebe Cool bweyali ku NBS yagamba nti ye muntu eyaleeta Bucha Man mu Kampala namuteeka mu FIRE BASE CREW kyandiba ekituufu naye lwaki tewamutwala ewa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okumala ebbanga eryo lyonna lyomaze ne Pulezidenti?
Lwaki oba tomwogerako okutuusa Catherine Kusasira Sserugga lwakyuusizza obulamu bwe? Lwaki kati omwogerako oluvannyuma lwa Catherine Kusasira okumutwala ewa Pulezidenti? Onatera okutugamba nti ggwe watwala Kusaasira ewa Pulezidenti ekitali kituufu kuba Maama Nalweyiso ye yamutwala ewa Pulezidenti nga naawe Mayor Ragga Dee bweyakutwala ewa Pulezidenti wabula ekyenjawulo ye takyogerako wadde nga ali mu kifo kituufu okukyogerako.
Tusiime Kusaasira olw’omutima ogwagaliza abalala okutuuka ew’omusajja era kati Buchaman naye ayogerwako ku TV. Weebale nnyo Maama Kabina wadde nga toyogerayogera naye abantu balaba byokola n’obusobozi bwo. Bebe ku nsonga ya Buchaman tofunyeewo kabonero wadde nga oyagala nnyo okuwaana olw’ebintu byotakoze.
Eddy messiah

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Palamenti yeetaaga obuwumbi 3 okusasula ababaka abapya (3.3bn)