Bebe Cool kiriza Bobi Wine alina ebisima – Zuena Nana

#Wolokoso;
Eno bbaluwa yamuwagizi;
“Nze Zuena Nana era nga ndimuwagizi wa Gagamel, njagala kubaako kyenjogera kigende eri Omuyimbi wange Bebe Cool n’abawagizi ba Gagamel International bonna.
Bwoba kino tonakitegeera manya nti Sitaani mulimba nnyo, era akyakola kinene nnyo okutulemesa okufuna emikisa gya Katonda mu bulamu bwaffe.
Lwaki njogera kino, Omuyimbi wange ansingira enaku bbiri eziyise yali ku NBS nagamba; “Nze Bebe Cool ne Bobi Wine tuli mukuvuganya era sijja kumukiriza kubeera kyalowooza, sigenda kumukiriza kunzirukako”. Naye nga njogera amazima ndi muwagizi wa Bebe Cool ffa nfe, naye go amazima gali nti Bobi Wine ali wala nnyo, ekisooka Mubaka wa Palamenti, ekirala si Mubakabaka nga Judith Babirye, Kato Lubwaama, Simeo Muwanga Nsubuga n’abalala. Mu mazima omuvubuka alina ebisima.
Ate kino tukimanye nti Katonda bwaggulawo abeera aguddewo kiba kiwedde. Teri mulyammere asobola kukiremesa. Bobi Wine yatandika okuyimba oluvannyuma lw’emyaka 5 ng’omuyimbi wange Bebe Cool yayimba dda wabula akoze bingi okuva mu kuyimba okusinga Bebe Cool, ejjo gyonna mikisa kuva eri Mukama Katonda.
Bobi Wine abadde mu Palamenti ya Yuganda ebbanga kya mwaka gumu n’emyezi mibale naye afuuse Mubaka wanjawulo okusinga n’ababaka abalala ababaddeyo emyaka ogwo Mukisa.
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye yayingira eby’obufuzi emyaka nga 20 egiyise era nga yabadde Munnabyabufuzi ku ludda oluvuganya ow’amaanyi okumala emyaka 20, wabula omusajja eyakayingira eby’obufuzi mu mwaka gumu n’emyezi emitono aliddewo ekifo kya Besigye, ekyo kisima.
Bobi Wine yerandiza yekka era buli omu akimanyi. Avudde wala kuba yaliko kinyoozi, yatunda ku mazzi n’ebirala wabula yasobola okusoma okutuusa lweyatikirwa. Yatandika okuyimba n’akagoma, abantu abasinga nebamugoba ki siteegi, naye yalemerako kati Mubaka mulamba.
Ayagala bwa Pulezidenti ate ajja kubufuna tumuwagire ndi wa Bebe naye njagala Bobi awangule obwa Pulezidenti era nina ndagamuntu.”

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Bank of Uganda erabudde abawandiika ku ssente mwandizifiirwa