Amasomo agasomesebwa mu mattendekero agamu tegakirizibwa – NCHE

Alipoota eyafulumiziddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu mattendekero agawaggulu ekya National Council for Higher Education (NCHE) eraga nga amasomo agasoba mu 1000 agasomesebwa ku mattendekero agawaggulu omuli ag’ebyemikono wamu ne University okwetoloola eggwanga lyonna bwegatakirizibwa era nga gasoesebwa my bukyaamu.
Alipoota eraga nti mu mwaka gw’ebyensoma 2017/2018 amasomo agawerera ddala 1474 gegaweebwayo okukakasibwa wabula amasomo 471 gegakakasibwa ekitegeeza nti 1003 tegakirizibwa era gasomesebwa mu bukyaamu.
Executive Director wa NCHE Prof. Mary Okwakol agamba nti amattendekero agasinga ag’ebyemikono gasomesa amasomo agatakirizibwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Police ekutte emmundu 7 – Kisoro