#Luwalo Lwaffe
Amagombolola ag’enjawulo okuva mu Ssaza lye Buvuma ne Kyaddondo bakiise embuga nebaleeta oluwalo okusobola okuwagira emirimu gya Beene.
Ku luwalo lwerumu, amasomero ag’enjawulo okuva mu Gombolola ya Mutuba IV Masekati, nago gakiise.
Bwabadde abatikkula kulwa Katikkiro, Minisita w’amawulire, Lukiiko, Cabinet, Abagenyi era omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, akubirizza abavubuka naddala abava e Buvuma, okwongera okubunyisa enjiri eri bavubuka bannaabwe nti obulwadde bwa mukenenya gyebuli era basaanye okubwewala kubanga Buganda tesobola kudda ku ntikko nga abavubuka balwadde.
Mu ngeri yeemu akubirizza abayizi okubeera n’empisa olwo lwebajja okusobola okuwangula emisomo.
Engeri amagombolola gyegakiisemu;
Buvuma
Mumyuka Bugaya 600,000
Ssaabaddu Busamuzi 210,000
Ssaabawaali Bwema 650,000
Ssaabagabo Nairambi 380,000
1,840,000
Kyaddondo
Ridgeway Grammar School 1m
Hormisdallen Boarding P/s 1m
Victorious Education services 500,000
Lohana schools, Kampala 100,000
Bright Junior school-Makerere 200,000
Kyaggwe RD P/s 20,000
Old Kampala P/s 200,000
Namirembe Model 100,000
Convenant Junior school Mengo 100,000
Kampala Secondary school 100,000
Kampala High school 250,000
Abayizi abalala 160,000
3,730,000
Omugatte: 5,570,000