Omwana wa myezi 9 afiiridde mu kaduukulu ka Police

Omwana wa myezi mwenda afiiridde mu kaduukulu ka Police e Bugema nnyina gyeyasibwa ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde oluvannyuma lw’okugombebwamu obwala nga yakwatibwa olw’okuba nti yasaalimbira mu kifo ky’atateekeddwa kubaamu.

Omwana afudde ategeerekeseeko lya Rahma nga mwana wa Sarah Nantume eyakwatibwa olw’okusaalimbira mu nnimiro ya mulirwana we Maama Jamal esangibwa e Busiik.

Ab’erabiddeko n’agaabwe bagamba nti omukyala ono Nantume Sarah yayaayaanye ng’agamba nti omwana we mulwadde nga yeetaaga okutwala m ddwaliro, wabula n’agaanibwa okuteebwa ku kakalu ka Police era n’atwalibwa mu kaduukulu k’e Bugema wabula bugenze okukya leero nga omwana z’embuyaga ezikaza engoye.  Ye akulira Police y’e Bugema avuze maama n’omulambo gwe n’abazzaayo ku Police y’e Busiika

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply