Omukazi asibye bba ku njegere afe atwale eby’obugagga

Police mu Disitulikiti y’e Kalungu ewonyezza musajja mukulu ow’emyaka 45 okugenda ekalannamo oluvannyuma lw’okubanga mukazi we n’omwana baamusibira mu nnyumba  okumala emyezi ena.

Charles Lwanga  kigambibwa nti mukazi we Betty  Ndagaano ow’emyaka 40 ne muwalawe amanyiddwa nga  Fouster Nabawanda ow’emyaka 23 baamuwamba nebamusibira mu nju ku kitanda nga bakozesa enjegere nga baagala afe beddize ebintu bye.

Wabula abooluganda lwa Lwanga nebatemya ku Police ezze obukubirire okutaakiriza obulamu bwa bwe.

Omusasi waffe mu bitundu by’e Masaka ne Kalungu, Margret Kayondo ayogeddeko n’omwogezi wa Police mu maserengeta ga Buganda ,  Nandawula Dayana n’akakasa bino.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

4 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno. ...

10 0 instagram icon
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga. ...

12 2 instagram icon