Omubaka Namuju asimattuse okuwanduukululwa mu Palamenti

Omubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y’e Lwengo Cissy Namuju awonedde  watono nnyo awaalema ekkere okubuuka okuba nga awanduukululwa mu Palamenti.

Kino kiddiridde kkooti ejulirwamu okusazaamu ekyasalibwawo kkooti enkulu e Masaka ekyokumusazaamu nga omubaka mu Palamenti ow’ekitundu kino .

abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwa amyuka Ssaabalamuzi Steven Kavuma, bategeezezza nti Namuju yalondebwa mu butuufu era nga n’empapula ze ez’obuyigirize zimala.

Abalamuzi bawakannyizza ekyasalibwawo omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Margret Tibulya nebategeeza nti teyatunula mu kawaayiro akalaga nti omuntu bwaleeta okwemulugunya okw’egeri nga eno alina okuleeta emino gy’abalonzi egisoba mu 500 so nga eyawaayo omusango guno Martin Kizito Ssemwanga yaleeta emikono 460 gyokka ate nga egyetaagisa girina kuba 500 n’okudda waggulu.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

64 4 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw'amazaalibwa olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw`amazaalibwa olulungi. ...

8 0 instagram icon