Minisita Kamya yeesammudde eby’okukukusa emmundu ya Kibuule n’agifulumya Palamenti

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Betty Olive Namisango Kamya yeegaanye ebibadde bimwogerwako nti yayambako Minisita Ronald Kibuule okufulumya emmundu gyeyali ayingidde nayo mu kisenge kya Palamenti ekiteesezebwamu ate nga kimenya mateeka.

kinajjukirwa nti mu lutuula lwa Palamenti olw’olwokusatu lwa ssabbiiti ewedde ababaka ab’oludda oluvuganya Gavumenti beemulugunya ku Minisita Kibuule nga bweyali ayingidde mu Palamenti n’emmundu era nga kino kyaviirako akasattiro mu Palamenti era okukkakkana nga olutuula lwa Palamenti Sipiika Kadaga olwongezzaayo.

Kamya agamba nti ye tayalaba ku Ronald Kibuule na mmundu era olwo olupapula lw’amawulire olubimujwetekako luteekeddwa okumwetondera.