Kitalo! Commisioner wa Police afiiridde ku lugendo lw’ennyonyi e Dubai

Commissioner Makmot Okello afiiridde ku lugendo lw’ennyonyi e Dubai mu United Arab Emirates (UAE). Ono abadde musirikale wa Poliisi nga akolera mu Minisitule y’ensonga z’omunda nga yavunaanyizibwa ku mmundu entono wamu n’ebitongole ebikuuma ddembe eby’obwannanyini mu ggwanga.
Nga tanazibwa mu Minisitule, Okello yali ku kitebe kya Poliisi e Naguru wakati wa 2009 – 2010 nga yavunaanyizibwa okulondoola emirimu gy’ebitongole by’obukuumi eby’obwannannyini, emmundu mu bantu ababulijjo wamu n’okusunsula mw’abo abaagala emmundu ez’obwannannyini.
Yakulirako ekitongole ekirwanyisa obubbi bw’ebisolo mu district y’e Katakwi, era nga yaliko Regional Police Commander wa West Nile wakati wa 2006 – 2007.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon