Kato Lubwama ali ku muliro

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Margret Oguli Oumo aganbye nti Omubaka mu Palamenti eya Lubaga ey’amaserengeta, Kato Lubwama talina buyinza bujulira ku kyasalibwawo kkooti okukkiriza omulonzi Habib Buwembo okugenda mu maaso n’omusango ng’awakanya empapula ze ez’obuyigirize.

Omulamuzi akisimbyeko amannyo n’ategeeza nti etteeka terikkiriza mu eyawawaabirwa kujulira nga waliyo okusaba okwasooka ku ntandikwa y’omusango guno nga kkooti erina kusooka kuwulira musango. Agamba nti Kato Lubwana bw’aba waakujulira, alina kukikola  nga kkooti enkulu emaze kuwulira na kuwa nsala yaayo ku musango guno .

Wabula Puliida wa Kato Lubwama, Asuman Basalira yeerayiridde okugenda mu kkooti ezisingawo nga awakanya kino ekisaliddwawo.

 

 

 

 

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon