Kadaga ayagala Ambulance zookumazzi

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga, Rebecca Alitwala Kadaga azzeemu n’attukiza kaweefube w’okusaba Ambulance zoku mazzi okusobola okutaasa obulamu bw’abakyala abasulirira okuzaala naddala abali mu bizinga .

Bino abyogedde n’agamba nti mu myaka esatu yategeeza Pulezidenti Museveni naye Gavumenti neyeefuula nampulira zzibi ekiteeka obulamu bwa ba nakazadde mu katyabaga.

Sipiika bino abyogedde bwabadde aggulawo omusomo ogwetabiddwamu ababaka mu Palamenti  nga bateesa ku nsonga ezeekuusa ku bakyala , abaana awamu n’abavubuka.

Ye eyaliko omubaka mu Palamenti owa Buyikwe ey’amaserengeta nga yaweerezaako abantu b’e Buvuma, Dr. Lulume Bayiga agamba nti kyennyamiza okuba nga ba maama abali ku kizinga baavu lunkupe nga tebalina busobozi bwetuusaako bujjanjabi .

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply