EC yeetaaga obuwumbi 40 okulondesa ba Ssentebe b’ebyalo

AKakiiko k’ebyokulonda kagamba nti Bannayuganda bayinza obutafuna  mukisa kulonda ba Ssentebe ab’enkiiko ezikulembera ebyalo n’ab’e Miruka mu ggwanga okutuusa nga Gavumenti emaze okukafunira obuwumbi bwa Ssiringi ya Yuganda 40 ze keetaaga okuteekateeka okulonda kuno .

Obukiiko bw’ebyalo bwasembayo okulondebwa mu 2001 era nga abakulembezi abaalondebwa mu kiseera ekyo obukulembeze bwabwe bwaggwako dda kumpi kati emya kkumi . Wadde nga wabaddewo okulaajanira Gavumenti ku kino, tewannabaawo kyamaanyi kyabadde kutuukibwako .

Ssentebe w’akakiiko ke’by’okulonda Eng .  Badiru Kiggundu agamba nti akakiiko mkasobola okutegeka okulonda kuno singa kafunirwa ensimbi ezimala . Kagamba nti ensimbi eziwera obuwumbi musanvu tezisobola kutegeka kinti nga kino .  Kiggundu ayongerako nti

”Ffe nga Commission tuludde nga tuli beetegefu naye omwana w’omusiraamu Bamaali tannaba kuwera , twetaaga obuwumbi 40. Enkiiko ezo za mugaso nnyo bannange, nze nzaagala, naliko Chairman emyaka mingi ” .

Ssentebe Eng . Badiru Kiggundu bw’avudde awo n’ategeeza Bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda  mu Kampala  ku bikwata ku kulonda okw’ababaka mu Palamenti ne ba Ssentebe ba  zi Disitulikiti wamu ne ba Kkansala baabwe abagenda okulondebwa mu zi Disitulikiti empya omuli; Kagadi, Kakumiro,Kibaale ,Komoro ne Bubanda era nga akalulu ka ku bbalaza nga 29 Agusito 2016 .

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply