Ebya Kanyamunyu tebinnaggwa, azzeeyo e Luzira

Kkooti enkulu mu Kampala nate omulundi ogwokubiri ezzeemu  okugaana okuwa Mathew Kanyamunyu omukisa gw’okweyimirirwa mu musango ogumuvunaanibwa ne banne Cynthia Munwangali ne Joseph Kanyamunyu nga bateeberezebwa okuba nga benyigira mu kutta Keneth Akena e Lugogo mu Kampala ku nkomerero y’omwaka ogwaggwa.

Omulamuzi Yasin Nyanzi ategeezezza nti waakuwa ensonga ezimmisizza Mathew Kanyamunyu omukisa gw’okweyimirirwa nga 30 Muzigo omwaka guno.

Wabula Omulamuzi Nyanzi akkirizza banne ba Mathew Kayamunyu, Cynthia Munwangali ne Joseph Kanyamunyu okweyimirirwa olw’ensonga nti obujulizi obuleeteddwa omuwaabi wa Gavumenti bulaga nti bano ababiri baggyamu kuyamba oba  okutaasa nga Mathew Kanyamunyu amaze okukola obutemu nga bwekiteeberezebwa.

Nyanzi ayongeddeko nti afunye obukakafu nti ababiri bano Joseph Kanyamunyu ne Cynthia Munwangali baggyakusobola okudda mu kkooti okwewozaako.

Nabwekityo n’alagira bano buli omu okusasula obukadde butaano nga za kakalu ka kkooti ate n’ababeeyimiridde buli omu okusaula obukadde ataano (50) ezitali za buliwo era n’abagaana okufuluma eggwanga nga tebafunye lukusa okuva mu kkooti . Era n’alagira Joseph Kanyamunyu okuleeta mu kkooti ekyapa ky’ettaka ekya Mathew Kanyamunyu.

Guno gwemulundi ogwokubiri nga Mathew Kanyamunyu ammibwa omukisa gw’okweyimirirwa nga ogwasooka gwaliyo mu Kamufuumuulampawu nga Omulamuzi Elizabeth Kabanda yagaana okumukkiriza okweyimirirwa.

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply