Basobezza kirindi ku mukazi agambibwa okuba omusezi

Poliisi e Lwengo eri kumuyiggo gw’abasajja 2 abatanategerekeka abagambibwa okusobya ku mukazi gwebagamba nti musezi. Kigambibwa nti ekikolwa kino kyaliwo ku lw’omukaaga ku ssaawa nga Nnya ez’ekiro ku kyalo Bitookebisalire mu Malongo Sub-County.

Kigambibwa bano baggwa ku Aisha Nalwanga 42, omutuuze w’e Kyazanga nga azina bukunya mu malaalo ku kyalo Bitookebisalire. Bano bamukutte nga bamuvunaana ogw’okusalimbira mu biggya ebitali bibye. Era ekibonerezo kyebawa kwekutandika okumusobyako kirindi era bwatyo nakuba enduulu eyasombodde abatuuze okumutaasa.

Abatuuze bakakanye ku Nalwanga nebatandika okumukuba nga bamulanga okugezaako okuziikula omufu okuva mu zimu kuntaana era oluvannyuma basazeewo okumwetolooza ekyalo kyonna nga ali bukunya wabula Police ye Katovu nemutaasa.

Baganda ba Nalwanga Shadik Kizito ne Sumiya Nassuuna bagamba nti ono alina ekizibu ku bwongo era nga yatoloka okuva ewaka mu kiro.

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

19 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon