Entries by Mubiru Ali

Akakiiko ka Nakalema kakutte Munnamateeka

Akakiiko akalwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi mu Ggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force bakutte Munnamateeka Lukungu Musa navunaanibwa omusango gwokufuna ssente mu lukujjukujju natwalibwa mu kkooti emusindise ku alimanda. Kigambibwa nti ono n’abalala batunda ettaka obukadde 150 erisangibwa e Kyaddondo Block 917, Plot 257 e Munyonyo […]

Curfew wakuyimirizibwa mukuzzaayo abaana

Gen. Edward Katumba Wamala Minisita w’ebyenguudo n’entambula; “Tewagenda kubaawo akwata curfew abazadde bwebanaaba bazzaayo abaana ku masomero okubasobozesa okutambula. Emigugu gyonna mu ntambula eyolukale gyakukeberebwa. Temugamba nti bano baana, tomanya kiyinza kubeeramu.”

Poliisi erina obuyinza okuyimiriza mu lugendo – Gen. Katumba

Gen. Edward Katumba Wamala Minisita w’ebyentambula n’enguudo; “Kyosobola okutandikira kwekwambala mask ngogenda ku lugendo. Uganda Police Force egyakubeerako ku makubo ng’ekebera, era balina omuyinza okuyimiriza obuteyongerayo gyolaga singa oba totuukirizza bisaanyizo. Abayita takisi ne ba bulooka tebakirizibwa mu terminal. COVID-19 akyali naffe ate asaasana nnyo.”

Aba bbaasi ne takisi bagenda kwongeza ebisale

Akiikiridde abavuzi ba Takisi ne Bus Nsimire agamba nti oluvannyuma lwokuggulawo eby’entambula okukolera ku 100 ku 100, bakiriziganyizza nti ku bisale byebaali bajja ku basaabaze mu 2019, bagenda kwongerako ensimbi entonotono olw’ebintu ebiwerako. Kyebagenda okwongerako kyakubeera wakati wa 5,000/= – 10,000/= era basaba abasaabaze okubaguminkiriza.

Waliwo eddiini empya e Kamwenge

Yiino eddiini empya eyitibwa nrm nga ekulemberwa omusajja eyiyita Katonda Nuweabigaba Emmanuel nga bakungaanye okusaba e Biguli, Kamwenge. Abagoberezi bagamba nti balinda Mukama kabatwala mu Ggulu.

Bugingo aleete obuwumbi 2 ng’omusingo – Male Mabiriizi

Munnamateeka Male Mabiriizi ataddeyo okusaba kwe mu Kkooti ngayagala ewalirize Omusumba Aloysious Bugingo ateekeyo omusingo ogw’obuliwo gwa buwumbi 2 okuwaliriza Bugingo alekerawo okumutiisatiisa ye n’abajulizi mu musango gweyamuwaabidde ogwokukola omukolo gw’okwanjula mu bumenyi bw’amateeka. Mabiirizi agamba nti omusingo guno gwakuleetera Pastor Bugingo okwefuga wamu n’obutanyomoola buyinza bw’omulamuzi wa Kkooti y’e Entebe ali mu musango guno.

Bobi Wine bamwanirizza e Gomba

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olunaku lw’;eggulo yagenzeeko e Gomba ku butaka okulambula ku baayo. Abantu ab’enjawulo bamwaniriza ssaako n’okumuwa emikisa.