Entries by Mubiru Ali

Gavumenti ewadde Tooro tulakira 2

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Hon. Frank Tumwebaze ngayita mu NAADs olunaku lw’eggulo yawaddeyo ttulakita bbiri eri Obwakabaka bwa Tooro okutuukiriza ekigendererwa kya MAAIF okulaba nti etumbula ebyobulimi obuvaamu ensimbi. Ttulakita zino yazikwasizza Omukama Oyo ku ffaamu ye eya King Oyo Model Farm esangibwa ku kyalo Bukaiko, Bugaaki Sub-County mu Disitulikiti y’e Kyenjojo. […]

Kyabazinga Gabula yakyali Kyabazinga – Katuukiro Muvawala

Katuukiro wa Busoga Mw. Joseph Muvawala (PhD) avuddeyo nasambajja ekiwandiiko ekitambuzibwa ku mutimbagano nga kiraga nga Abataka bwebaggye obwesige mu Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV. Ono agamba nti Kyabazinga Gabula yakyali Kyabazinga omutuufu eyalondebwa nga 24-August-2014 era tabuusibwabuusibwa. Busoga okwisanhia namaani.

Abataka e Busoga baggye obwesige mu Kyabazinga

Agava e Busoga galaga nga Olukiiko lw’abataka b’obwa Kyabazinga bwebaggye obwesigwa mu Kyabazinga waabwe Isebantu William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV mu kiwandiiko ekyabagibwa nga 3-January-2022 nebalonda Edward Columbus Wambuzi Muloki, Zibondo wa Bulamoji, nga Kyabazinga omuggya. Olukiiko lwawandiikidde Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah okumutegeeza ku nkyuukakyuuka eziriwo mu bukulembeze bwa Busoga.

Ababaka Ssewanyana ne Ssegiriinya betaaga obujanjabi – Hon. Matias Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Enkya yaleero ŋŋenzeeko mu Kkomera e Kigo okukyalira ku Babaka banaffe Hon. Allan Ssewanyana Allan ne Hon. Muhammad Ssegiriinya nga bano babadde mu kkomera kumpi emyezi 5 kati. Bano bagaaniddwa okweyimirirwa enfunda eziwerako ekitali mu mateeka. Twogedde bingi nabo ku mbeera eriwo […]

Commercial Officer wa Disitulikiti y’e Kalungu aliira ku nsiko

Omubeezi wa Minisita ow’ebyensimbi avunaanyizibwa ku nsonga za Microfinance Hon. Harunah Kyeyune Kasolo avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gwa Commercial Officer wa Disitulikiti y’e Kalungu John Bosco Jjuuko kubigambibwa nti yabulankanya ensimbi z’Emyooga. Kigambibwa nti ono yasabanga abantu ssente abalina okufuna ssente z’Emyooga nti era yakwata ssente za SACCO zabazirwanako naziwa Parish Chief akole bizineesi […]

Murushid Jjuuko awumudde ogwa ttiimu y’eggwanga

#SimbaSportsUpdates; Central Defender ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Murushid Jjuuko avuddeyo nalangirira nga bwawumudde omupiira ku ttiimu y’Eggwanga. Mu bbaluwa ye gyawandiikidde ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) agamba nti asazeewo awummule omupiira ku ttiimu y’eggwanga wabula yenyumiriza nnyo mu mukisa ogumuweereddwa okuzannyira ttiimu y’eggwanga era kyamuyamba […]

Bobi Wine yalimba emyaka ku Driving Permit ye – Male Mabiriizi

Munnmateeka Male Mabiriizi alabika tajja kuweera, olunaku olwaleero aguddewo omusango omulala ku Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine omusango omuggya mu kkooti y’omulamuzi wa Nakawa nga ku luno avunaana Bobi Wine kubeera na Driving Permit eriko emyaka gy’obuzaale emifu. Ono ayagala Bobi Wine akwatibwe.

Bobi Wine akwatibwe – Male Mabiriizi

Male Mabiriizi agamba nti tajja kuweera okutuusa nga Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine akwatiddwa kuba emirundi mingi ayitiddwa mu Kkooti wabula nga talabikako. Agamba nti ayagala Kkooti efulumye ekibaluwa kibakuntumye akwatibwe.