Entries by Mubiru Ali

Poliisi ya Kira Road ekutte abantu 15 okuva mu Mulimira Zone

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire; “Poliisi y’e Kira wamu n’eggye lya UPDF bakoze ekikwekweto mu Mulimira Zone n’e Kyabando gyebakwatidde abateeberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 15. Mukwaza bano gyebabeera basanzeeyo ebiragalalagala n’ebirala. Ekigendererwa kyekikwekweto kino kwekunoonya abo ababbira ku luguudo lwa Kampala Northern Bypass.”

Ayagala okutabula Yuganda ne Rwanda oyo mulabe – Gen. Muhoozi

Omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. gen. Muhoozi Kainerugaba; “Ndi mukulu ekimala okukimanya nti Yuganda ne Rwanda ggwanga limu! Bwetwali mubuwanganguse mu gye 80 nze ne famire yange nga batuyita Banyarwanda. Abalabe be bayinza okulemesa enkolagana yaffe. Tugonjoole obumulumulu obutono mu bwangu tugende mu maaso!”

Manchester United 1 – 0 West Ham United

#SimbaSportsUpdates; Mu mpaka za Premier League Manchester United ekubye West Ham United Ggoolo 1 ku 0 nga ggoolo ya Man u eteebeddwa Marcus Rashford mu ddakiika eye 90+3. Manchester City yakulembedde ekimeeza mu mipiira 22 alina obubonero 56, Liverpool FC emipiira 21 obubonero 45, Chelsea Football Club emipiira 23 obubonero 44, Manchester United emipiira 22 […]

Owa Traffic eyalubiddwa e Nakulabye akyali mulamu

PC Harshim Mwenyi 28, omusirikale wa Traffic okuva e Tororo AIGP Kasingye gwabadde abise nti yatiddwa abantu e Nakulabye oluvannyuma lwa muganzi we gweybadde awambyeeko essimu omukubira enduulu nti mubbi akyaliyo mu mulamu era nga ali mu Ddwaliro e Mulago afuna bujanjabi. Ono yagiddwa mu Ggwanika oluvannyuma lwokukizuula nga mulamu.

Pulezidenti Museveni ali Nakasongola

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero atongozza webadaabiririza ennyonyi namunkanga ku Nakasongola Airforce Base. Omulimu gukulembeddwamu NEC of MODVA/UPDF ne Proheli International Kkampuni okuva e Russia.

Gen. Muhoozi agenze Rwanda

Omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba mutaka mu Ggwanga lya Rwanda era nga atuukidde ku Kigali International Airport. Agenze e Rwanda ku lukyala lwa lunaku lumu. Asuubirwa okusisinkana ne Pulezidenti Paul Kagame mu ttuntu lyaleero. Ono ayaniriziddwa Brig. Gen. Willy Rwagasana, Commandant Republican Guard ne Rwanda MoD Spokesperson Col. Ronald Rwivanga.

Ttuleela y’amafuta etomedde owa booda booda nekwata omuliro

Kitalo! Abantu abawerako bandiba nga bafiiridde mu muliro n’abalala nebalumizibwa mu kabenje akagudde ku mayiro 6 ku luguudo lwa Mbale – Tororo ttuleela y’amafuta bwetumedde owa booda booda n’oluvannyuma neyefuula. Oluguudo lugaddwa nga ekitongole kya Poliisi ekizikiriza omuliro bwekikola ogwakyo.