Entries by Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni alonze DIGP omuggya

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Maj. Gen. Geoffrey Tumusiime Kasigazi nga omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force. Mu ngeri yemu era asizza buggya kkontulakita ya Commissioner General w’ekitongole kyamakomera ekya Uganda Prisons Service -UPS Dr. Johnson Byabashaija.

Pulezidenti Museveni mu 1986

#EbirwaBikyuuka; Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu 1986 yagamba nti ebintu ebikulu byeyalina okutandikirako kwekuzzaawo demokulasiya wamu n’okukuuma abantu n’ebintu byabwe. Yagamba nti eggye lye lyerisinga empisa kuba lyali livunaanye abantu 5 ab’eggye lino lwakutta Bannayuganda. #NRMAt36

Aba booda booda mugira mulindako tulinda Pulezidenti kutuwabula – CP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku nsonga ya booda booda okuba nga zikoma ssaawa emu eyakawungeezi; “Abakulembeze b’ebitongole byebyokwerinda batudde nebekkaanya ensonga zokwongezaayo ku budde booda booda kwezirina okukoma okukola nebavaayo nebiragiro ebirina okuteekebwa mu nkola okuteekesa mu nkola ekinaaba kisaliddwawo nebabiweereza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abitunulemu. Tulindirira kuwabulwa ku biragiro […]

Kakwenza azzeemu nakwatibwa nga yakateebwa mu kkomera e Kitalya

Omuwandiisi Kakwenza Rukirabashaija kigambibwa nti azzeemu nawambibwa nga yakafuluma ekkomera e Kitalya mu motoka ekika kya Double-Cabin ngendabirwamu zirimu tint nga ne nnamba yaayo ebikiddwa nabuzibwawo. Okuzinziira ku mumuyuuka wa Loodi Meeya Doreen Nyanjura agamba nti ono atwaliddwa emotoka nga ennamba zaayo zibadde zibikiddwa.

Ssaabasajja Kabaka aweerezza Ssaabasumba omuggya obubaka

Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obwetikiddwa Omulangira David Wasajja eri Ssaabasumba omuggya ow’essaza ly’e Kampala The Most Rev. Dr. Paul Ssemogerere; “Ng’otandika omulimu omunene ogw’okubeera Ssaabasumba ow’essaza ekkulu ery’e Kampala, tujja kukusabira nnyo, tusaba Mukama akwongere omukisa gwe bulijjo.”

5 bafiiridde mu mataba e Kisoro

Kitalo! Abantu 5 bandiba nga bafudde nga nabawerako tebakubwako kimunye oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba eyatonnye mu kiro ekiyise mu Disitulikiti y’e Kisoro erese nga amazzi ganjadde mu bitundu ebiwerako. Ennyumba eziwerako zayononeddwa amataba, nga amazzi ganjadde mu nguudo zonna nga zijudde amayinja nettosi.   📸 Uganda Red Cross Society

Male Mabiriizi ayagala bamuwe Driving Permit ya Pulezidenti Museveni

Munnamateeka Male Mabiriizi Kiwanuka awandiikidde Minisitule y’ebyenguudo n’entambula nga ayagala amuwe kkopi ya Driving Permit ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Mu bbaluwa Mabiriizi gyeyawandiise nga 24-January-2022 yawandiikidde Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule eno ngamusaba amuwe Driving Licence ya Pulezidenti Museveni etaggwangako. Mabiriizi agamba nti nga Munnayuganda ngakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka mu kawayiro (1) (d) akirizibwa okukuuma […]