Entries by Mubiru Ali

Omubaka Ssenyonyi yetabye mu bulungi bwansi e Kyanja

Omubaka wa Nakawa West Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi yegasse ku batuuze mu zone ez’enjawulo ezikola omuluka gwe Kyanja okuyonja ekitundu kyabwe. Omubaka Ssenyonyi yakubirizza abatuuze mu kitundu kino okukola bulungi bwansi buli mwezi okusobola okukuuma obwa sseruganda wamu n’okukuuma ekitundu kyabwe nga kiyonjo ekijja okutumbula ebyobulamu.

NRM mwanfiriza buli kimu kati munsudde – Catherine Kusaasira

Omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Catherine Kusasira Sserugga avuddeyo alaajana; “Nfiiriddwa buli kimu ekyange lwakibiina kyange ekya National Resistance Movement – NRM, obukuusa bungi mu NRM ng’ekibiina, okola nnyo newewaayo mu buli kimu okulaba nti ekibiina kibeera bulungi naye tosiimibwa. Nga neerekereza ebyange bingi mu kalulu akawedde, nentuuka nokwewola ssente mu bbanka ntandikewo pulojekiti […]

Kitalo! Container ekubye emotoka netta abasirikale ba UPDF 2

Kitalo! Abasirikale b’eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF 2 bafiiriddewo mbulaga container bwegweridde emotoka mwebabadde batudde ku Corner Junction ku luguudo lwa Malaba – Jinja. Abafudde ye Warrant officer Collins Manayanga ne Private James Tumusime, bombi nga bateekebwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA)/ Customs Malaba. […]

Poliisi ekutte Ddereeva wa Ambulance eyagitisse ennaanansi

Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttunduttundu ly’e Kigezi Elly Maate avuddeyo nategeeza nga Ddereeva w’emotoka agafemulago nnamba UG 3797M eya Kebisoni Health Center IV mu Disitulikiti y’e Rukungiri bwakwatiddwa oluvannyuma lw’emotoka eno okukubwa ekifaananyi ng’etikkula ennaanansi. Matayo Barekye, 50 nga mutuuze w’e Nyakabare cell, Kebisoni Town Council mu Disitulikiti y’e Rukungiri yeyakwatiddwa Poliisi. Emotoka […]

SSP Nabakka asikidde ACP Namaye n’omumyuuka w’omwogezi wa Poliisi

Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martins Okoth Ochola olunaku olwaleero alonze SSP Claire Nabakka ng’omumyuuka w’omwogezi wa Poliisi CP Fred Enanga. Ono asikidde ACP Polly Namaye eyasindikibwa e South Sudan omwaka oguwedde. SSP Nabakka abadde akola nga Administrator ku Senior Command and Staff College, Bwebajja e Wakiso era emirimu agitandikiddewo.

Palamenti esunsudde abalondeddwa Pulezidenti

Akakiiko ka Palamenti akasunsula abantu ababa balondeddwa Pulezidenti ku bifo eby’enjawulo nga kakubirizibwa omumyuuka wa Sipiika Rt. Hon. Anitah Among olwaleero kasusundde; Commissioner General wa Uganda Prisons Service -UPS, Dr. Johnson Byabashaija, Maj. Gen. Geoffrey Katsigazi Deputy IGP wamu ne ba Board of Directors Petroleum Authority of Uganda.