Akabenje katuze 14 e Lugazi

Abantu 14 bafiiridde mu kabenje ddekabusa akaguddewo akawungeezi ka leero ku kyalo Ssagazi ekisangibwa mu Municipaali y’e Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.

Ayogerera Police mu bitundu bya Lugazi,  Lamech Kigozi atutegeezezza nti Takisi UAZ 350U ebadde eva mu buvanjuba bwa Uganda ng’ekubyeko abasaabaze eyambalaganye bukanzu ne lukululana UAU 650S ebadde Eva e Kampala n’egikulula okumala akabanga.

Agamba nti abantu bonna e 14 ababadde mu kamunye batemamu bateme mu mmotoka nga bayambibwa Police etaasa abantu abagudde ku kabenje, era nti emirambo gy’abantu gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’ e Kawolo.

Wabula Kigozi agamba nti bateebereza okuba nga akabenje kavudde ku mbeera ya budde olwokubanga enkuba ebadde etonnya . Kitalo!

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply