Ababaka balabudde akakiiko k’ebyettaka

Ababaka mu Paliyamenti balabudde akakiiko k’ebyettaka akaatekebwawo Pulezidenti era nebalaga nga sibasanyufu n’etteeka ate n’enteekateeka ku byettaka, nti byebivaako obusambattuko n’obuzibu eri abantu.

 Ababaka bano nga boogera ku bizibu byebasanga mu bantu olw’etteeka ly’ettaka lyebagamba nti lijjudde ebirumira n’ebituli songa ate era n’enkola yalyo bagamba byebimu ku bizibu abantu byebasanze nti era ensonga z’ettaka zibamazeeko emirembe okuwereza abantu obulungi.

 Okusinziira ku mubaka wa Kasanda ey’amaserengeta  mu Paliyamenti, Simeo Nsubuga, ababaka bangi bali mu ntalo ne bannanyini ttaka nga waliwo ebyabuusibwa amaaso,  nga abeewola mu bbanka nga bakozesa ebyapa by’ettaka.

Mu kujjukira nga waali wateekeddwawo akakiiko ak’ekika kino nga kaliko ababaka nga Rosemary Nansubuga Sseninde, akaasubiza okutereeza nokuteekawo enkyukakyuka mu by’ettaka naye ku luno ababaka nga batunuulira emirimu gy’akakiiko kano, baagala abaalondeddwa baleme kutuula mu ofiisi wabula bagende ku byalo abantu bababuulire nabo nga ababaka baabwe byebalaba ne byebazudde.

 Wabula Omubaka Nsubuga, nga atendereza obufere obuli mu ttaka, awadde eky’okulabirako mu kitundu kyakiikirira nga wasobola okuvaayo omuntu n’alaga nga bwalima Mayiro nga 20 naye ekyewunyisa ng’ate mu Mayiro  ezo mulimu abalala nabo abalina ebyapa  abawera abataano oba omusanvu.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply