Latest News

Museveni awadde ekiragiro eri ebitongole by’ebyokwerinda


Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde ebitongole by'eyokwerinda wamu n'abakozi ba Gavumenti okulera awamu basobole okuweereza abantu obulungi.

Pulezidenti okuwa ekiragiro kino asinzidde ku mukolo gw'okulayiza General Elly Tumwine ku bwa Minisita w'ebyokwerinda nga guno guyindidde mu maka g'obwa Pulezidenti Entebbe, eno Museveni gy'asinzidde n'ategeeza nti ensonga z'ebyokwerinda zeetaagamu okukolera awamu era tewaalibaddewo kutya kwonna mu kukolagana. 

Museveni ayongeddeko nti emiwaatwa egiriwo mu bikozesebwa eby'ekikugu gigwanidde okuggalwa olwo ebitongole by'ebyokwerinda bikole bulungi era n'ategeeza nti tewali Gavumenti kyetasobola kukola nga kyetaagisa.