Latest News

Kirumira atabukidde mu kkooti ya Police, addiziddwayo e Nalufenya


Eyali omuduumizi wa Police mu Disitulikiti y'e Buyende Muhammad Kirumira azziddwa mu kkomera e Nalufenya oluvannyuma lwa kkooti ya Police okussaawo obukwakkulizo buna obuzibu bw'alina okusooka okutuukiriza alyoke akkirizibwe okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti. 

Kirumira avunaanibwa emisango omuli; Okuggya ensimbi ku bantu, okugulirira abantu, okufuna ekyojamumiro, okukozesa eryanyi erisukkiridde ng'agombamu obwala abantu, okutulugunya abantu. 

Kkooti nga ekulemberwa Senior Commissioner wa Police Denis Odongopiny etegeezezza nti okuggyako nga Kirumira avauddeyo n'atuukiriza obukwakkulizo buno obuteereddwawo, tagenda kukkirizibwa kuyimbulwa ku kakalu ka kkooti. 

Wabula Kirumira ategeezezza nti ye buno obukwakkulizo tabulabamu nsa, baagala kumukuumira mu kkomera era n'agamba nti kalumanywera ava ku kuba nti yavaayo n'ayogera ku emivuyo egiri mu Police.