Latest News

Ebya P.7 bifulumye , emitwalo etaano bagudde


Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board mu ttuntu lya leero kifulumizza ebyava mu bigezo by'ekibiina eky'omusanvu ebya 2017 era nga abalenzi bakubizza abawala kaga .

Omukolo oguyindidde mu yafeesi ya Ssaabaminisita mu Kampala, Ssaabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo ategeezeza nti abayizi bakoze bulungi okusinga ku ba 2016 era nga emasomo  "Social Studies" ne "Science " abayizi gebasinze okuyita obulungi

Odongo alaze nti abayizi emitwalo etaano mu kasanvu mu kikumi mu kyenda mu munaana bayitidde mu ddaala erisooka, ate emitwalo abiri mu mwenda mu enkumi ssatu mu lwenda mu nsanvu mu musanvu bayitidde mu ddaala lyakubiri so ate emitwalo kkumi n'ebiri mu kanaana mu bitaano mu nsanvu mu ssatu bayitidde mu lyakusatu, emitwalo mwenda mu lukumi mu bitaano mu bana bayitidde mu lyakuna .

Abayizi emitwalo etaano mu kasanvu mu bisatu mu ataano mu bana bagudde n'enkoona n'egwa wabula ebibuuzo by'abayizi enkumi bbiri mu bitaano mu ataano mu mwenda biboyeddwa olw'okuteeberezebwa okwenyigira mu kubba ebigezo.