Latest News

Minisita Moriku ali mu mbeera mbi ddala


Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu ebisookerwako (Primary Health Care) , Dr. Joyce Moriku ali mu mbeera mbi mu ddwaliro lya IHK mu Kampala oluvannyuma lw'ebigambibwa nti yalidde emmere erimu obutwa.

Sarah Opendi, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by'obulamu ategeezezza nti embeera ya Minisita munne yeeyongedde obutawoomya nakabululu oluvannyuma lw'okuba nti takyassa bulungi era yateereddwa ku kyuma  ekimuyamba okussa.

Opendi ayongeddeko nti Minisita Moriku ate era nga ye mubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y'e Moyo waakulinnyisibwa ennyonyi atwalibwe ebweru w'eggwanga okwongera okufuna bujjanjabi .