Latest News

RDC w’ Entebbe atenderezza obuyiiya bwa Radio Simba mu lugendo lwa kkoodi kkoodi Dubai


RDC w'ekibuga ky' Entebbe,  Naalongo Rosemary Kirabira atenderezza Radio Simba olw'obuyiiya obutakoma obugifudde Radio eyigirwako endala. 
Naalongo Kirabira bino abyogeredde mu kibuga Dubai eggulo kya leero mu Bawuliriza ba Radio Simba abasoba mu 100 abali ku lugendo lwa kkoodi kkoodi Dubai ne Bannayuganda ababeera e Dubai bakungaanidde ku 
Kyombo ekirimu Wooteeri etambula Dao Cruise mu kitundu ky'e Deira mu Dubai. 

Wano RDC w'asinzidde n'akalaatira Bannakkoodi kkoodi byonna byebayiga mu ngendo zino babizze mu Yuganda bakolemu eby'amakulu.